Wayingira otya e Makerere?? Kkooti eyise Kyagulanyi anyonyole engeri gye yafunamu Diploma

KKOOTI ya LDC e Makerere eyise Ssenkulu wa National Unity Platform NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu abitebye butya bwe yayingira ettendekero lye Makerere, natuuka n’okufunayo Diploma mu kuyimba, amazina n’okuzannya emizannyo. Kino kiddiridde munnamateeka Male Mabirizi okuddukira mu kkooti nateekayo omusango nga agamba nti e Makerere Kyagulanyi yayingirayo mu bukyamu. Mabirizi agamba nti Kyagulanyi era eyavuganyako […] The post Wayingira otya e Makerere?? Kkooti eyise Kyagulanyi anyonyole engeri gye yafunamu Diploma appeared first on Watchdog Uganda.

Wayingira otya e Makerere?? Kkooti eyise Kyagulanyi anyonyole engeri gye yafunamu Diploma

KKOOTI ya LDC e Makerere eyise Ssenkulu wa National Unity Platform NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu abitebye butya bwe yayingira ettendekero lye Makerere, natuuka n’okufunayo Diploma mu kuyimba, amazina n’okuzannya emizannyo.

Kino kiddiridde munnamateeka Male Mabirizi okuddukira mu kkooti nateekayo omusango nga agamba nti e Makerere Kyagulanyi yayingirayo mu bukyamu.

Mabirizi agamba nti Kyagulanyi era eyavuganyako ku ntebe enkulu eye Ggwanga bwe yayingirira e Makerere nga 21October 2000 yalina emyaka 20 gyokka, kyokka nga ekisinga okwewunyisa yayingirira kun kola eya Mature Entry (Okusoma kwa bantu abakulu) kyagamba nti kino kikontana n’amateeka agafuga ettendekero lye Makerere aga 1999-2000 ne 2000-2001agagamba nti omuntu yenna okuyingira okusoma mu nkola eyaterwawo abantu abakulu olina okuba nga ekitono ennyo oli wa myaka 25, oba omuntu yenna eyakoma okusoma emyaka 5 emabega.

Ku lw’okubiri omulamuzi wa kkooti ento ku LDC yawerezza Kyagulanyi ekiwandiiko ekimuyita mu Kkooti abeeko byanyonyola ku nsonga zino, omuli n’okufuna ebiwandiiko mu bukyamu nga 7 October 2021 ku ssawa mukaaga ogw’emisana

Mu kkoti Mabirizi yatwalayo empapula ezilaga engeri Kyagulanyi gye yafunamu ekifo e Makerere mu mwaka gwa 2000 ku nkola y’okusoma kwa bakulu (Mature Entry) kyokka nga mu kiseera ekyo yali tanaweza myaka 25 nga amateeka bwe gaali gagamba

 

 

 

 

 

 

 

The post Wayingira otya e Makerere?? Kkooti eyise Kyagulanyi anyonyole engeri gye yafunamu Diploma appeared first on Watchdog Uganda.